Exodus 30:22-32

Amafuta ag’Okusiiga

22Awo Mukama n’agamba Musa nti, 23 a“Ddira ebyakawoowo bino eby’omuwendo: Kiro mukaaga ez’omugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu; 24 bne kiro mukaaga eza kasiya, ne lita nnya ez’amafuta g’omuzeeyituuni; ng’ebipimo by’obuzito bw’omu Watukuvu bwe biri. 25 cBino byonna obikolemu amafuta amatukuvu ag’okusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ng’ebikoleddwa omutabuzi w’eby’akawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu ag’okufukibwangako. 26 dOlyoke osiige n’amafuta ago Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano, 27n’emmeeza n’ebibeerako byonna, n’ekikondo ky’ettaala n’ebyakyo byonna, n’ekyoto eky’obubaane, 28n’ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ebikozesebwako, n’ebbensani ne kw’etuula. 29 eObyawule bifuuke bitukuvu nnyo, era buli ekinaabikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.

30 f“Alooni ne batabani be onoobafukako amafuta, obaawule, balyoke bampeerezenga nga bakabona. 31Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu ag’okufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna. 32 gTegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu.
Copyright information for LugEEEE